Hosea 12

1 aEfulayimu alya mpewo;
agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
n’aweereza n’amafuta e Misiri.
2 b Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 cBwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 dYameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
5 e Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 fNaye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.

7 gOmusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
8 hEfulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”

9 iNze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 jNayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 kGireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 lYakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;
Alamu bwe bukiikakkono obw’ebugwanjuba bwa Mesopotamiya

Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
13 n Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 oNaye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Copyright information for LugEEEE